Nakasigirwa
Nakasigirwa kitegeeza akagambo oba akayingo akayimirirawo ku lw’erinnya mu mboozi/sentensi. Nakasigirwa zirina ebika ebiwerako era nga mwe muli bino wammanga.
Ebika bya nakasigirwa
[kyusa | edit source]Nakasigirwa ez'obuntu
[kyusa | edit source]Zino ze nakasigirwa ezikozesebwa mu kifo ky’amannya ag’abantu. Mu zino mulimu nakasigirwa za bika bibiri: i) Ezeemala ii) eziteemala
Ka tuzirabire mu mweso guno wammanga. Omweso ogusooka gulaga nakasigirwa ez'obuntu ezeemala.
Omuntu | Bumu | Bungi |
---|---|---|
Asooka | Nze | Ffe |
Owookubiri | Ggwe | Mmwe |
Owookusatu | Ye | Bo |
Omweso oguddako gulaga nakasigirwa ez'obuntu eziteemala.
Omuntu | Bumu | Bungi |
---|---|---|
Asooka | n- | tu- |
Owookubiri | o- | mu- |
Owookusatu | a- | ba- |
Nakasigirwa ezeemala: zino zisobola okuyimirirawo ku bwazo ne ziwa amakulu agategeerekeka. Nakasigirwa eziteemala: zino zimala kuyungibwako kigambo kirala ne ziryoka ziwa amakulu. Era nga bw'olabye mu mweso ogwokubiri waggulu, nakasigirwa eziteemala, ziwandiikibwa nga ziragirwa nti buwango obuyungibwa ku ntandikwa y'ekigambo (prefixes).
Ebyokulabirako: Eziteemala
- ndya mmere
- osoma kitabo
- agenda kujja
Ezeemala
- Nze eyabbiddwa
- Ggwe watutte omwana mu ddwaliro.
- Omwana teyayise mmwe?
Nakasigirwa endazi
[kyusa | edit source]Zino ze nakasigirwa eziraga ebbanga eririwo wakati w’omuntu ayogera, ekyo ky'ayogerako wamu n’oyo gw’akigamba. Nakasigirwa zino ziragibwa n’obuyingo busatu:
Ekifo awali ekyogerwako Akayingo
- kumpi n’ayogera kyokka wala n’oyo awuliriza -no (bano)
- wala n’ayogera kyokka kumpi n’awuliriza -o (abo)
- kiri wala w’abantu bano bombi(ayogera n’awuliriza) -li (bali)
Nakasigirwa ezibuuza
[kyusa | edit source]Zino zo zibeera zibuuza era nga sentensi mwe zibeera zikomekkerezebwa n’akabonero akabuuza (?); ne mu zino mulimu ezo ezeemala n’eziteemala.
Ezeemala:
- ddi?
- Ki?
- wa?
Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti zisobola okuyimirirawo ku bwazo ne ziwa amakulu agategeerekeka nga tezigattiddwa ku bigambo birala. Okugeza:
-Abadde akola ki? -Olikomawo ddi? -Wa gy’ogenda okubiggya?
Eziteemala: Zino ziyitibwa zityo olw’ensonga nti ziba zirina kusooka kugattibwako kigambo oba kayingo kalala okusobola okuwa amakulu agategeerekeka. Okugeza:
- Omwana okubye waaki?
- Abaana abayise wano baani?
- Enkoko y’akabiika amagi ameka?
- Amazzi g’okimye galiwa?
- Nnakawere ali atya?
Nakasigirwa ez’obwannannyini
[kyusa | edit source]Zino ziraga obwannannyini omuntu bw’aba nabwo ku kintu oba omuntu. Zeeyolekera mu muntu asooka, owookubiri n’owookusatu, mu bumu ne mu bungi.
Omuntu | Bumu | Bungi |
---|---|---|
Asooka | -ange (kyange) | -affe (kyaffe) |
Owookubiri | -o (kikyo) | -ammwe (kyammwe) |
Owookusatu | -e (kikye) | -abwe (kyabwe) |
Nakasigirwa Entabaluganda
[kyusa | edit source]Zino ziteekawo oluganda wakati w’erinnya ekkozi oba erikolebwako mu mboozi. Zino zikyukakyuka n’ennyingo y’olubu erinnya mwe liba liri. Eby’okulabirako:
i)Enkozi (‘a’, ‘o’ , ‘e’)
- Ekikopo ekyatise kinsaze.
- Omwana alya musanyufu.
- Omuddo ogukaze mubi
ii)Ezikolebwako Zino kuliko: ( bye, ke, kye, ze, lye, be, ge)
- Ekitabo kye babbye kipya.
- Omusaayi gwe baasanze mu kinaabiro muyitirivu.
- Ente ze baleeta zaayonoonye ebirime.
- Ettooke lye mulidde tto.
Nakasiba
[kyusa | edit source]Zino nazo zireetawo oluganda wakatiw’erinnya n’ebigambo ebirala ebikozeseddwa mu mboozi. Nakasiba zimalawo okubuusabuusa mu mboozi. Mu zino mulimu: ( bye, ke, kye, ze, lye, be, ge,…….)
Eby’okulabirako
- Emiyembe gye balya.
- Matooke ge batema.
- Lusuku lwe balima.
- Akataayi ke kasaze.
Nakasigirwa eziggumiza
[kyusa | edit source]Zino zongera amaanyi ku mukozi/akolebwako gwe ziba ziddiridde mu mboozi. Nazo zokyukakyuka okusinxiira ku lubu lw’erinnya eriba liri mu mboozi.
Eby’okulabirako
- Nalule ye gwe banoonya.
- Akambe ko ke basasiza.
- Embwa yo ye ndalu.
- Ebinsambwe byo bye balukisa.
Nakasigirwa ez’essira
[kyusa | edit source]Zino ziraga era n’okussa essira ku linnya eriba mu mboozi. Ziragibwa n’obuyingo bubiri –nna, ne –kka. Buno bwe bugattibwa ku nnakasigirwa okusobola okuwa amakulu.
Eby’okulabirako;
- Ayise yekka yajja okusuumusibwa.
- Abalwadde bonna baanirizibwa.
- Abasajja bonna balimba.
- Ebijanjaalo byonna byakooleddwa.
References
[kyusa | edit source]- Ashton, Ethel O. (1954) Luganda grammar.London, New York, Longmans, Green.
- Kyagaba, Dan. (2003). Grammar w'Oluganda omusengejje.
- Walusimbi, Livingstone. Oluganda lwa Yunivaasite. Makerere University.